Ngeye Clan Logo

E kika ky'Engeye

Development Committee

Ekitongole ky'enkulakulana mu kika ky'Engye kyasibwawo okutekawo enkola egobererwa mu kwekulakakulanya kw'ekika. Kikola n'amanyi okulaba nga kizuula abazukulu abakugu abasasobola okukula emirimu egiba gisalidwaawo okukolebwa nga mwe muli okugiteekateeka, okugikola n'okulaba nti gitambula bulungi. Eri kivunanyizibwa okunonya ensimbi ezinaakola emirimu egyo nga kiyita mu makubo amalambulukufu agategeeerekeka era ageesigik. Ekitongole kyateekwo enkola egoberere n'okulondoola emirimu egiba gisalidwaao okukolebw nga bwegikolebw okusinziira ku nteekateeka yagyo. Awetaaga okukyusa nga wakukyusibwa okusinziira ku mbeera nga bweba ekyuseemu. Emirimu gy'ekika: 

  1. Okunnunula obutaka bwaffe. 
  2. Okuzimba ekitebe ku butaka n'ekitebe mu Kampala, amasomero, amalwaliro 
  3. Okukola emirimu egivaamu ssente eziyimirizaawo emirimu gy'ekika ku mitendera gyonna. 

Okukola emirimu egyo wagula kyetaaga ssente nyingi. Essente zinno zijja kufunibwa mu ngeri zino wa manga:

  1. Abageye beyini sekinoomu (contributions). 
  2. Mubitongole by'ekika ebikola ssente. 
  3. Mu makubo agamanyidwa agategekebwa omuwanika.

Office Bearers

Abdal Kasule

Website Admin

Siga: Kasule, e Buwembo

Mutuba: Kalungi e Busere

Lunyiriri: Silimu Kalungi e Busere